Ezekiel 40:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Okuva mu maaso g'omulyango okutuusa eri ekisasi kyagwo gye kiggweerako waaliwo emikono amakumi ataano.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’okuva ku bwenyi bw’omulyango awayingirirwa okutuuka ekisasi kyagwo we kikoma waali mita amakumi abiri mu ttaano.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'okuva ku bwenyi bw'omulyango awayingirirwa okutuuka ku bwenyi obw'ekisasi eky'omunda eky'oku mulyango gyali emikono ataano (50).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Obuwanvu bwonna obw'olukuubo, okuva ku mulyango awayingirirwa okutuuka ku kasenge akasembayo k'ovaamu okuyingira mu luggya olwomunda, bwali mita amakumi abiri mu ttaano.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'okuva ku bwenyi bw'omulyango awayingirirwa okutuuka ku bwenyi obw'ekisasi eky'omunda eky'oku mulyango gyali emikono ataano.