Ezekiel 40:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obuzigo n'ebisenge ebiyitamu munda w'omulyango kwaliko amadirisa amafunda okwetooloola wonna, era n'ekisasi kyali bwe kityo; amadirisa gaali gatunuulidde munda. Ebisenge ebiyitamu byali byoleddwako enkindu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era obusenge bwaliko amabanga amafunda okuva wansi okutuuka waggulu mu bisenge byabwo, okwetooloola obusenge bwonna; ate n’ekisasi nakyo kyalina amabanga agafaanagana nga gali ag’obusenge obw’abakuumi. Ku bisenge kwali kwoleddwako ebifaananyi eby’enkindu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era amayu gaaliko obudirisa, n'emifuubeeto gyago egyali munda w'omulyango enjuyi zonna, era n'ebizizi bwe bityo byaliko ebituli: era munda mwalimu ebituli okwetooloola: ne ku buli mufuubeeto kwaliko ebifaananyi eby'enkindu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Obusenge obwo ku buli ludda olw'olukuubo, bwalina amadirisa okwetooloola. Amadirisa ago gaali mafunda munda, awatunula emyango gyago mu bisenge ebyomunda, era ku buli mwango, kwali kwoleddwako ebifaananyi by'enkindu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era amayu gaaliko ebituli ebyazibibwa, n'emifuubeeto gyago egyali munda w'omulyango enjuyi zonna, era n'ebizizi bwe bityo byaliko ebituli: era munda mwalimu ebituli okwetooloola: ne ku buli mufuubeeto kwaliko enkindu.