Ezekiel 40:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'antwala mu luggya olw'ebweru, eyo ng'eriyo ebigango, ne wansi awo nga waaliriddwa amayinja okwetooloola wonna oluggya; ebigango byali amakumi asatu okwetooloola omwaliiro ogw'amayinja.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo omusajja n’andeeta mu luggya olw’ebweru; ne ndaba ebisenge ebimu n’olubalaza ebyazimbibwa, ebisenge ebyo ebyazimbibwa ku lubalaza mu bbugwe okwetooloola oluggya lwonna, byali amakumi asatu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo n'antwala mu luggya olw'ebweru, era, laba, nga waaliwo ebisenge asatu (30), n'amayinja amaaliire, okwetooloola oluggya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omusajja n'antwala mu luggya olw'ebweru. Lwali lwetooloddwa omwaliiro ogw'amayinja, n'obusenge amakumi asatu, obutunudde ku mwaliiro ogwo,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo n'antwala mu luggya olw'ebweru, era, laba, nga waaliwo ebisenge n'amayinja amaaliire, ebyakolerwa oluggya okwetooloola: ebisenge amakumi abiri byali ku mayinja ago amaaliire.