Ezekiel 40:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omwaliiro ogw'amayinja gwagendanga gugoba emiryango era nga mugazi okwenkana obuwanvu bwagyo; guno gwe gwali omwaliiro gw'amayinja ogw'emmanga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olubalaza lwakolebwa okwetooloola bbugwe. Obugazi bw’olubalaza lwali lwenkanankana n’obuwanvu bw’omulyango, era ng’olubalaza lwolekedde oluggya. Olubalaza olwo lwe luyitibwa olubalaza olwa wansi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'amayinja amaaliire gaali ku mabbali g'emiryango, okwenkanankana n'obuwanvu obw'emiryango, ge mayinja amaaliire aga wansi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ogwali gwetoolodde oluggya. Oluggya luno olw'ebweru, lwali wansinsiko okusinga oluggya olwomunda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'amayinja amaaliire gaali ku mabbali g'emiryango, okwenkanankana n'obuwanvu obw'emiryango, ge mayinja amaaliire aga wansi.