Ezekiel 40:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'apima obuwanvu okuva munda mu mulyango ogw'emmanga okutuuka ku luggya olw'omunda we lukoma. Waaliwo emikono kikumi, ebuvanjuba n'emambuka nga kye kimu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’oluvannyuma n’apima ekibangirizi okuva omulyango ogw’Ebuvanjuba we gukoma okutuuka ebweru ow’oluggya olw’omunda, ze mita amakumi ataano. Waaliwo n’omulyango ogw’Obukiikakkono. N’ekibangirizi okuva ku mulyango ogwo we gukoma okutuuka ebweru w’oluggya olw’omunda nakyo kyali mita amakumi ataano.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo n'agera obugazi okuva ku bwenyi obw'omulyango ogwa wansi okutuuka ku bwenyi obw'oluggya olw'omunda ebweru, emikono kikumi, ebuvanjuba n'obukiikakkono.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'apima obugazi okuva ku mulyango ogwawansi, okutuuka ku luggya olwomunda, bwe buvanjuba n'obukiikaddyo, mita amakumi ataano.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo n'agera obugazi okuva ku bwenyi obw'omulyango ogwa wansi okutuuka ku bwenyi obw'oluggya olw'omunda ebweru, emikono kikumi, ebuvanjuba n'obukiika obwa kkono: