Ezekiel 40:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu kulabikirwa Katonda, yantwala mu nsi ya Yisirayeli, n'anteeka ku lusozi oluwanvu ennyo okwali ekizimbe ng'eky'ekibuga ku ludda olw'emaserengeta.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu kwolesebwa, Katonda n’antwala mu nsi ya Isirayiri n’anteeka ku luuyi olw’Obukiikaddyo obw’olusozi oluwanvu ennyo okwali ebizimbe ebyali ng’ekibuga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukwolesebwa, Katonda n'antwala mu nsi ya Isiraeri, n'anzisa ku lusozi oluwanvu ennyo, okwali ekifaananyi ky'ekibuga mu bukiikaddyo
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu kulabikirwa, Katonda n'antwala mu nsi ya Yisirayeli, n'anteeka ku lusozi oluwanvu ennyo, okwali mu bukiikaddyo ekifaanana ng'ekibuga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'antwala mu nsi ya Isiraeri mu kwolesebwa kwa Katonda, n'anzisa ku lusozi oluwanvu ennyo, okwali ng'embala y'ekibuga ku bukiika obwa ddyo.