Ezekiel 40:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obuzigo bwagwo, obusatu ku buli luuyi, empagi n'ekisasi byonna byali bya bipimo bye bimu n'omulyango ogusooka. Gwali gwa mikono amakumi ataano obuwanvu, ate n'obugazi emikono abiri mu etaano.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Obusenge bwagwo obw’abakuumi, busatu oluuyi n’oluuyi, n’ebbanga wakati waabwo, n’ekisasi kyagwo, byalina ebipimo bye bimu ng’omulyango ogusooka. Omulyango ogwo gwali mita amakumi abiri mu ttaano obuwanvu, n’obugazi mita kkumi na bbiri n’ekitundu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Obusenge bwagwo busatu oluuyi n'oluuyi, n'emifuubeeto gyabwo n'ebizizi byawo byali ng'ekigera eky'omulyango ogwolubereberye: obuwanvu bwagwo emikono ataano (50), n'obugazi emikono abiri mu etaano (25).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Obusenge obusatu ku buli ludda olw'olukuubo, n'ebisenge wakati waabwo, n'obusenge bw'ovaamu okuyingira mu luggya, byonna awamu byalina ebipimo ebyenkanankana n'eby'omu lukuubo olw'omulyango ogw'omu buvanjuba. Obuwanvu bwali mita amakumi abiri mu ttaano, n'obugazi mita kkumi na bbiri n'ekitundu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'amayu gaako gaali asatu eruuyi n'asatu eruuyi; n'emifuubeeto gyako n'ebizizi byako byali ng'ekigera eky'omulyango ogw'olubereberye: obuwanvu bwagwo emikono amakumi ataano, n'obugazi emikono amakumi abiri mu etaano.