Ezekiel 40:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amadirisa, ekisasi, n'enkindu ezooleddwako byalina ebipimo bye bimu n'eby'omulyango ogutunudde ebuvanjuba; amadaala musanvu nga ge gambukayo, ekisasi nga kitunudde munda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amabanga gaagwo amafunda, n’ekisasi kyagwo, n’ebifaananyi eby’enkindu ebyagwo byalina ebipimo bye bimu ng’eby’omulyango ogw’Ebuvanjuba. Amadaala musanvu ge galinnyibwanga okutuuka ku mulyango ogw’Obukiikakkono. Gwalina ekisasi ekyali ku nkomerero y’omulyango ogwo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Amaddirisa n'olukuubo lwabwo, n'ebifaananyi eby'enkindu, byalina ekigera kye kimu n'omulyango ogutunuulira ebuvanjuba. Amadaala musanvu nga gegalinnyibwa okutuuka ku mulyango ogw'obukiikakkono, omulyango gwalina ekisasi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Amadirisa g'olukuubo lwagwo, n'obusenge bwagwo bw'ovaamu okuyingira mu luggya, n'enkindu ezooleddwako, byali kyekimu n'eby'omulyango ogw'omu buvanjuba. Baalinnyanga amadaala musanvu okugutuukako, n'obusenge bwagwo bw'ovaamu okuyingira mu luggya, bwali ku nkomerero yaagwo awatunudde mu luggya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ebituli byagwo n'ebizizi byagwo n'enkindu zaagwo, byali ng'ekigera eky'omulyango ogutunuulira ebuvanjuba; era baagulinnyirangamu ku madaala musanvu; n'ebizizi byagwo byali nu maaso gaago.