Ezekiel 40:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Waaliyo omulyango ogw'oluggya olw'omunda olutunuulidde omulyango ogw'emambuka era nga bwe kyali n'ebuvanjuba; n'apima okuva ku mulyango ogumu okutuuka ku mulyango omulala, waaliwo emikono kikumi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Waaliwo omulyango ogw’oluggya olw’omunda ogwatunuulira omulyango ogw’Obukiikakkono, nga ogwali Ebuvanjuba. N’apima okuva ku mulyango ogw’oluggya olw’omunda okutuuka ku mulyango ogw’Obukiikakkono mita amakumi ataano.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era oluggya olw'omunda lwaliko omulyango ogwolekera omulyango omulala, obukiikakkono era n'ebuvanjuba; n'agera okuva ku mulyango okutuuka ku mulyango emikono kikumi (100).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omulyango guno ogw'omu bukiikakkono, okufaananako n'ogwo ogw'omu buvanjuba, gwali gutunudde mu mulyango omulala oguyingira mu luggya. Omusajja n'apima ebbanga eriri wakati w'emiryango egyo, ne liba mita amakumi ataano.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era oluggya olw'omunda lwaliko omulyango ogwolekera omulyango omulala, obukiika obwa kkono era n'ebuvanjuba; n'agera okuva ku mulyango okutuuka ku mulyango emikono kikumi.