Ezekiel 40:24 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'antwala ku ludda olw'emaserengeta, waaliyo omulyango ogutunudde emaserengeta. N'apima emyango gyagwo n'ekisasi kyagwo; byali bya bipimo bye bimu na giri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo n’ankulembera n’antwala ku luuyi olw’Obukiikaddyo ne ndaba omulyango ogw’Obukiikaddyo, n’apima empagi zaagwo n’ekisasi kyagwo, ng’ebigera byabyo byenkanankana n’ebirala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo n'antwala obukiikaddyo, kale, laba, omulyango ogw'obukiikaddyo, n'agera emifuubeeto gyagwo n'ekisasi ng'ebigera ebyo bwe biri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo omusajja n'antwala mu bukiikaddyo, nayo ne tusangayo omulyango. N'agupima, nga gwenkanankana na giri ebiri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo n'antwala obukiika obwa ddyo, kale, laba, omulyango obukiika obwa ddyo: n'agera emifuubeeto gyagwo n'ebizizi byagwo ng'ebigera ebyo bwe biri.