Ezekiel 40:25 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omulyango n'ekisasi byalina amadirisa okwetooloola wonna okufaanana amadirisa amalala gali. Gwali gwa mikono amakumi ataano obuwanvu, ate obugazi emikono abiri mu etaano.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omulyango n’ekisasi kyagwo byalina amabanga amafunda okwetooloola wonna, ng’amabanga ag’ebirala. Omulyango ogwo gwali mita amakumi abiri mu ttaano obuwanvu, ng’obugazi mita kkumi na bbiri n’ekitundu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era kwaliko amadirisa ku gwo ne ku kisasi kyagwo, enjuyi zonna ebifaanana amadirisa ago, obuwanvu emikono ataano (50), n'obugazi emikono abiri mu etaano (25).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mwalimu amadirisa mu busenge bw'olukuubo lwagwo, nga bwe gaali mu nkuubo ziri endala. Obuwanvu bw'olukuubo, bwali mita amakumi abiri mu ttaano, n'obugazi mita kkumi na bbiri n'ekitundu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era kwaliko amadirisa ku gwo ne ku bizizi byagwo enjuyi zonna ebifaanana amadirisa ago: obuwanvu emikono amakumi ataano, n'obugazi emikono amakumi abiri mu etaano.