Ezekiel 40:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amadaala musanvu nga ge gambukayo, ekisasi kyali eno munda; ku mpagi ku buli luuyi nga kwoleddwako enkindu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amadaala musanvu ge gaalinnyibwangako okugutuukako. Gwalina ekisasi ekyali ku nkomerero yaagwo. Gwaliko n’ebifaananyi eby’enkindu ebyayolebwa eruuyi n’eruuyi ku bisenge byagwo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era waaliwo amadaala musanvu kwe baalinnyiranga, n'ekisasi kyagwo, kyali mu maaso gaago, era gwaliko n'ebifaananyi by'enkindu, eruuyi n'eruuyi ku mifuubeeto gyagwo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Waaliwo amadaala musanvu okugutuukako. Obusenge bwagwo bw'ovaamu okuyingira mu luggya, bwali ku nkomerero yaagwo awatunuulidde oluggya. Waaliwo enkindu ezooleddwa ku bisenge by'olukuubo ebyomunda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era waaliwo amadaala musanvu kwe baalinnyiranga, n'ebizizi byagwo byali mu maaso gaago: era gwaliko enkindu, olumu eruuyi n'olumu eruuyi ku mifuubeeto gyagwo.