Ezekiel 40:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oluggya olw'omunda kwaliko omulyango ogutunudde emaserengeta, n'apima okuva ku mulyango guno okutuuka ku mulyango ogw'oku luuyi olw'emaserengeta, waaliwo emikono kikumi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Waaliwo n’omulyango ogw’oluggya olw’omunda ogwatunuulira omulyango ogw’Obukiikaddyo. N’apima okuva ku mulyango ogwo okutuuka ku mulyango ogw’Obukiikaddyo; zaali mita amakumi ataano.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era oluggya olw'omunda lwalina omulyango ogwolekera obukiikaddyo n'agera okuva ku mulyango okutuuka ku mulyango okwolekera obukiikaddyo emikono kikumi (100).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era oluggya olwomunda, lwalina omulyango ogutunudde mu bukiikaddyo. Omusajja n'apima okuva ku mulyango ogw'ebweru okutuuka ku mulyango ogwo ogwomunda, ku ludda olwo olw'omu bukiikaddyo, mita amakumi ataano.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era oluggya olw'omunda lwalina omulyango ogwolekera obukiika obwa ddyo: n'agera okuva ku mulyango okutuuka ku mulyango okwolekera obukiika obwa ddyo emikono kikumi.