Ezekiel 40:28 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'annyingiza mu luggya olw'omunda ng'ampisa mu mulyango ogw'emaserengeta, n'apima omulyango ogw'emaserengeta. Gwalina ebipimo bye bimu na giri emirala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo n’antwala mu luggya olw’omunda nga tuyita mu mulyango ogw’Obukiikaddyo ogw’oluggya olw’omunda, n’apima, nga gulina ebipimo bye bimu ng’emirala gyonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo n'antwala mu luggya olw'omunda oluliraanye omulyango ogw'obukiikaddyo ng'ebigera ebyo bwe byali;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo omusajja n'antwala mu luggya olwomunda, ng'ampisa mu mulyango ogw'omu bukiikaddyo. N'apima omulyango ogwo ne guba nga gwenkanankana n'emiryango egy'omu kisenge eky'ebweru.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo n'antwala mu luggya olw'omunda oluliraanye omulyango ogw'obukiika obwa ddyo ng'ebigera ebyo bwe byali;