Ezekiel 40:29 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obuzigo bwagwo, empagi zaagwo n'ekisasi kyagwo, by'alina ebipimo bye bimu n'ebya biri. Omulyango n'ekisasi kyagwo by'alina amadirisa okwetooloola wonna. Byali bya mikono amakumi ataano obuwanvu n'obugazi emikono amakumi abiri mu etaano.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Obusenge bwagwo obw’abakuumi, n’amabanga gaagwo, n’ekisasi kyagwo byalina ebipimo bye bimu ng’ebirala. Omulyango n’ekisasi kyagwo byalina amabanga amafunda okwetooloola, era gwali mita amakumi abiri mu ttaano obuwanvu, n’obugazi mita kkumi na bbiri n’ekitundu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ebisenge n'emifuubeeto gyagwo n'ekisasi kyagwo ng'ebigera ebyo bwe byali, era gwaliko amadirisa n'ekisasi kyagwo enjuyi zonna, obuwanvu bwagwo emikono ataano (50) n'obugazi bwagwo emikono abiri mu etaano (25).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Obusenge bw'abakuumi, n'ebisenge wakati waabwo, n'obusenge bw'ovaamu okuyingira mu luggya, byali byenkanankana n'eby'emiryango emirala era obusenge bwonna bwaliko amadirisa wonna okwetooloola.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'amayu gaako n'emifuubeeto gyagwo n'ebizizi byagwo ng'ebigera ebyo bwe byali: era gwaliko ebituli era n'ebizizi byagwo enjuyi zonna byaliko ebituli: obuwanvu bwagwo emikono amakumi ataano n'obugazi bwagwo emikono amakumi abiri mu etaano.