Ezekiel 40:31 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekisasi kyalwo kyali kitunudde mu luggya olw'ebweru; emyango gyakyo gyali gyoleddwako enkindu, amadaala munaana nga ge gambukayo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekisasi kyagwo kyatunuulira oluggya olw’ebweru. Empagi zaakyo zaali zooleddwa n’ebifaananyi eby’enkindu. Amadaala munaana ge gaalinnyibwanga okutuuka ku kisasi eky’oku mulyango ogw’Obukiikaddyo ogw’oluggya olw’omunda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekisasi kyagwo kyayolekera oluggya olw'ebweru; n'emifuubeeto gyakyo gyalina ebifaananyi eby'enkindu; n'awalinnyirwa waaliwo amadaala munaana.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Obusenge bw'omulyango ogwo bw'ovaamu okuyingira mu luggya, bwali bwolekedde oluggya olw'ebweru, n'enkindu zaali zooleddwa ku bisenge ebyomunda eby'olukuubo lwagwo. Waaliwo amadaala munaana okugutuukako.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ebizizi byagwo byayolekera oluggya olw'ebweru; n'emifuubeeto gyagwo gyali enkindu; n'awalinnyirwa waaliwo amadaala munaana.