Ezekiel 40:32 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ate n'annyingiza mu luggya olw'omunda ku ludda olw'ebuvanjuba, n'apima omulyango; gwalina ebipimo bye bimu na giri emirala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oluvannyuma n’antwala mu luggya olw’omunda ku mulyango ogw’Ebuvanjuba ogw’oluggya olw’omunda, n’apima omulyango ogwo, nga gulina ebipimo bye bimu ng’emirala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'antwala mu luggya olw'omunda okwolekera obuvanjuba: n'agera omulyango ng'ebigera ebyo bwe byali;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omusajja n'antwala mu luggya olwomunda, ng'ampisa mu mulyango ogw'omu buvanjuba. N'apima omulyango ogwo, ne guba nga kyekimu n'emirala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'antwala mu luggya olw'omunda okwolekera obuvanjuba: n'agera omulyango ng'ebigera ebyo bwe byali;