Ezekiel 40:33 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obuzigo bwagwo, empagi zaagwo, n'ekisasi byalina ebipimo bye bimu ng'ebirala. Omuzigo n'ekisasi byalina amadirisa okwetooloola wonna. Gwali gwa mikono ataano obuwanvu n'emikono abiri mu etaano obugazi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Obusenge bwagwo n’amabanga gaagwo n’ekisasi kyagwo byalina ebipimo bye bimu ng’ebirala. Omulyango n’ekisasi byalina amabanga okwetooloola, era gwali mita amakumi abiri mu ttaano obuwanvu n’obugazi mita kkumi na bbiri n’ekitundu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
obusenge bwagwo n'emifuubeeto gyagwo n'ekisasi kyagwo ng'ebigera ebyo bwe byali, era gwaliko amadirisa n'ekisasi kyagwo enjuyi zonna. Obuwanvu bwagwo emikono ataano (50) n'obugazi bwagwo emikono abiri mu etaano (25).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Obusenge bwagwo obw'abakuumi, n'ebisenge wakati waabwo, n'obusenge bw'ovaamu okuyingira mu luggya, byali ng'eby'emiryango emirala. Era gwaliko amadirisa enjuyi zonna, era ne ku busenge bw'ovaamu okuyingira mu luggya. Obuwanvu bwonna bwali mita amakumi abiri mu ttaano, n'obugazi mita kkumi na bbiri n'ekitundu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'amayu gaako n'emifuubeeto gyagwo n'ebizizi byagwo ng'ebigera ebyo bwe byali: era gwaliko ebituli, n'ebizizi byagwo enjuyi zonna byaliko ebituli: obuwanvu bwagwo emikono amakumi ataano n'obugazi bwagwo emikono amakumi abiri mu etaano.