Ezekiel 40:34 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekisasi kyagwo nga kitunudde mu luggya olw'ebweru, enkindu nga zooleddwa ku myango gyagwo ku njuyi zombi, amadaala munaana nga ge gambukayo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekisasi kyagwo kyatunuulira oluggya olw’ebweru. Empagi zaakyo zaali zooleddwa n’ebifaananyi eby’enkindu. Amadaala munaana ge gaalinnyibwanga okutuuka ku kisasi eky’oku mulyango ogw’Ebuvanjuba ogw’oluggya olw’omunda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekisasi kyagwo kyayolekera oluggya olw'ebweru; n'emifuubeeto gyagwo gyaliko ebifaananyi by'enkindu, eruuyi n'eruuyi: n'awalinnyirwa waaliwo amadaala munaana.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Obusenge bwagwo bw'ovaamu okuyingira mu luggya olwomunda, bwali butunudde mu luggya olw'ebweru. Enkindu zaali zooleddwa ku bisenge by'olukuubo lwagwo ebyomunda, era waaliwo amadaala munaana okugutuukako.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ebizizi byagwo byayolekera oluggya olw'ebweru; n'emifuubeeto gyagwo gyaliko enkindu, eruuyi n'eruuyi: n'awalinnyirwa waaliwo amadaala munaana.