Ezekiel 40:35 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'antwala ku mulyango ogutunudde emambuka n'agupima. Gwalina ebipimo bye bimu n'emirala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’antwala ku mulyango ogw’Obukiikakkono ogw’oluggya olw’omunda n’alupima ng’ebipimo bye bimu ng’emiryango emirala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'antwala ku mulyango ogw'obukiikakkono, n'agugera ng'ebigera ebyo bwe byali;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omusajja n'antwala ku mulyango ogw'omu bukiikakkono. N'agupima, ne guba nga gwenkanankana n'emirala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'antwala ku mulyango ogw'obukiika obwa kkono: n'agugera ng'ebigera ebyo bwe byali;