Ezekiel 40:36 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Era n'obuzigo bwagwo, n'empagi zaagwo, n'ekisasi kyagwo. Gwalina amadirisa okwetooloola wonna. Gwali gwa mikono amakumi ataano obuwanvu, ate obugazi emikono amakumi abiri mu etaano.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Obusenge bwagwo obw’abakuumi n’amabanga gaagwo, n’ekisasi kyagwo byalina ebipimo bye bimu ng’ebirala. Omulyango n’ekisasi byalina amabanga okwetooloola, era gwali mita amakumi abiri mu ttaano obuwanvu, n’obugazi mita kkumi na bbiri n’ekitundu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ebisenge n'emifuubeeto gyagwo n'ekisasi kyagwo; era gwaliko amadirisa enjuyi zonna: obuwanvu bwagwo emikono ataano (50) n'obugazi bwagwo emikono abiri mu etaano (25).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nagwo gwalina obusenge obw'abakuumi, obusenge bw'ovaako okuyingira mu luggya, ebisenge ebyoleddwako enkindu, n'amadirisa ku njuyi zonna, n'obuwanvu bwagwo bwali mita amakumi abiri mu ttaano, n'obugazi mita kkumi na bbiri n'ekitundu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
amayu gaako n'emifuubeeto gyagwo n'ebizizi byagwo; era gwaliko amadirisa enjuyi zonna: obuwanvu bwagwo emikono amakumi ataano n'obugazi bwagwo emikono amakumi abiri mu etaano.