Ezekiel 40:37 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekisasi kyagwo nga kitunudde mu luggya olw'ebweru; enkindu nga zooleddwa ku myango gyakwo ku njuyi zombi; amadaala munaana nga ge gambukayo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekisasi kyagwo kyatunuulira oluggya olw’ebweru. Empagi zaakyo zaali zooleddwa n’ebifaananyi eby’enkindu. Amadaala munaana ge gaalinnyibwanga okutuuka ku kisasi eky’oku mulyango ogw’Obukiikakkono ogw’oluggya olw’omunda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'emifuubeeto gyagwo gyayolekera oluggya olw'ebweru; era emifuubeeto gyagwo gyaliko ebifaananyi by'enkindu eruuyi n'eruuyi: n'awalinnyirwa waaliwo amadaala munaana.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Obusenge bwagwo bw'ovaamu okuyingira mu luggya olwomunda, bwali bwolekedde oluggya olw'ebweru. Enkindu zaali zooleddwa ku bisenge by'olukuubo lwagwo ebyomunda, era waaliwo amadaala munaana okugutuukako.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'emifuubeeto gyagwo gyayolekera oluggya olw'ebweru; era emifubeeto gyagwo gyaliko enkindu eruuyi n'eruuyi: n'awalinnyirwa waaliwo amadaala munaana.