Ezekiel 40:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omusajja n'aŋŋamba nti: “Mwana w'omuntu, tunuulira n'amaaso go, wulira n'amatu go, byonna bye ŋŋenda okukwoleka bisseeko omutima, ye nsonga ekuleesezza wano. Byonna by'onoolaba bibuulire ennyumba ya Yisirayeli.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omusajja n’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu, tunula n’amaaso go owulire n’amatu go osseeyo omwoyo ku buli kye nnaakulaga, kyovudde oleetebwa wano. Byonna by’onoolaba obitegeeze ennyumba ya Isirayiri.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omusajja oyo n'aŋŋamba nti, “Omwana w'omuntu, tunula n'amaaso go, owulire n'amatu go, oteeke omutima gwo ku byonna bye nnaakulaga; kubanga kyovudde oleetebwa wano ndyoke mbikulage: byonna by'onoolaba obibuuliranga ennyumba ya Isiraeri.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omusajja oyo n'aŋŋamba nti: “Ggwe omuntu, tunula weetegereze bye ŋŋenda okukulaga, era bitegere amatu, obisseeko omwoyo, kubanga oleeteddwa wano, ndyoke mbikulage. Byonna by'onoolaba, obibuuliranga ab'Eggwanga lya Yisirayeli.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omusajja oyo n'aŋŋamba nti Omwana w'omuntu tunula n'amaaso go, owulire n'amatu go, oteeke omutima gwo ku byonna bye nnaakulaga; kubanga kyovudde oleetebwa wano ndyoke nkubirage: byonna by'onoolaba obibuuliranga ennyumba ya Isiraeri.