Ezekiel 40:41 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kwe kugamba nti waaliwo emmeeza nnya ku luuyi olumu olw'omulyango n'endala nnya ku luuyi olulala, ze mmeeza munaana okwattirwanga ebyonziira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne kitegeeza nga waaliwo emmeeza nnya ku luuyi olumu olw’omunda, n’emmeeza endala nnya ku luuyi olulala ng’oyimiridde mu mulyango, awamu z’emmeeza munaana, kwe battiranga ssaddaaka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Waaliwo emmeeza nnya eruuyi n'emmeeza nnya eruuyi okuliraana omulyango; emmeeza munaana kwe battiranga ssaddaaka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Zonna awamu zaali emmeeza munaana, kwe battiranga ensolo ez'ebitambiro: emmeeza nnya ku ludda olumu, n'emmeeza nnya ku ludda olulala, okuliraana omulyango.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Waaliwo emmeeza nnya eruuyi n'emmeeza nnya eruuyi okuliraana omulyango; emmeeza munaana kwe battiranga ssaddaaka.