Ezekiel 40:42 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Waaliwo era emmeeza ennya ez'amayinja amabajje olw'ebitambiro ebyokye, buli emu nga ya mukono gumu n'ekitundu obuwanvu, obugazi omukono gumu n'ekitundu n'obusimba omukono gumu; okwo kwe baatekanga eby'okukola ku bitone by'ebitambiro ebyokye n'ebyonziira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era waaliwo n’emmeeza endala nnya ez’amayinja amateme ez’ebiweebwayo ebyokebwa, buli emu yali desimoolo nsanvu mu ttaano eza mita obuwanvu, obugazi desimoolo nsanvu mu ttaano eza mita n’obugulumivu kitundu kya mita. Okwo kwe baateekanga ebiso ebibaaga ebiweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo ebirala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era waaliwo emmeeza nnya ez'ekiweebwayo ekyokebwa, ez'amayinja amateme, obuwanvu bwazo omukono ko ekitundu, n'obugazi bwazo omukono ko ekitundu, n'obugulumivu bwazo omukono gumu: kwe baateekanga ebintu bye bassisanga ebiweebwayo ebyokebwa ne ssaddaaka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Waaliwo n'emmeeza endala nnya, ez'okuteekangako ekiweebwayo ekyokebwa nga kiramba, ez'amayinja amateme, nga za sentimita nsanvu mu ttaano obuwanvu n'obugazi, ne sentimita amakumi ataano obugulumivu. Ku mmeeza ezo, kwe baateekanga ebikozesebwa byonna mu kutta ensolo ez'ebitambiro.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era waaliwo emmeeza nnya ez'ekiweebwayo ekyokebwa, ez'amayinja amateme, obuwanvu bwazo omukono ko ekitundu, n'obugazi bwazo omukono ko ekitundu, n'obugulumivu bwazo omukono gumu: kwe baateekanga ebintu bye bassanga ekiweebwayo ebyokebwa ne ssaddaaka: