Ezekiel 40:43 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'amalobo, nga ga luta lumu obuwanvu, gaali gakomereddwa wonna okwetooloola wonna. Emmeeza zaali za nnyama y'ebitambiro.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era waaliwo n’ewuuma ez’engalo bbiri, obuwanvu bwazo sentimita mwenda, ezaawanikibwa ku bisenge okwetooloola. Ku mmeeza kwe baatekanga ennyama ey’ebiweebwayo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ebikwaso, obuwanvu bwabyo luta, byasibibwa munda enjuyi zonna; ne ku mmeeza kwaliko ennyama ey'ekitone.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Amalobo ag'obuwanvu obwenkana oluta olumu, gaali gasibiddwa munda okwetooloola ebisenge, mu busenge bw'ovaamu okuyingira mu luggya. Ku mmeeza nga kwe kuteekebwa ennyama ey'ekiweebwayo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ebikwaso, obuwanvu bwabyo luta, byasibibwa munda enjuyi zonna; ne ku mmeeza kwaliko ennyama ey'ekitone.