Ezekiel 40:44 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ate ebweru w'omulyango ogw'omunda, mu luggya olw'omunda, ng'eriyo ebigango bibiri: ekimu kyalinga ku luuyi lw'omulyango ogutunudde emambuka nga kitunudde emaserengeta, ekirala nga kiri ku luuyi olw'omulyango nga kitunudde emambuka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu luggya olw’omunda waaliyo ebisenge bibiri eby’abayimbi, ekimu ku luuyi olw’omulyango ogw’Obukiikakkono ekyolekera Obukiikaddyo, n’ekirala ku luuyi olw’omulyango ogw’Obukiikaddyo okutunuulira Obukiikakkono.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ebweru w'oluggya olw'omunda waaliwo enju ez'abayimbi mu luggya olw'omunda olwali ku mabbali g'omulyango ogw'obukiikakkono era zaatunuulira obukiikaddyo, nga waaliwo emu ku mabbali g'omulyango ogw'obuvanjuba etunuulira obukiikakkono.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'anzigya ebweru n'annyingiza mu luggya olwomunda. Mu luggya olwo olwomunda, waaliwo ennyumba z'abayimbi, ku mabbali g'omulyango ogw'omu bukiikakkono, nga zitunuulidde ebukiikaddyo. Era waaliwo ennyumba emu ku mabbali g'omulyango ogw'omu buvanjuba, ng'etunuulidde ebukiikakkono.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ebweru w'oluggya olw'omunda waaliwo enju ez'abayimbi mu luggya olw'omunda olwali ku mabbali g'omulyango ogw'obukiika obwa kkono: era zaatunuulira obukiika obwa ddyo: nga waaliwo emu ku mabbali g'omulyango ogw'obuvanjuba etunuulira obukiika obwa kkono.