Ezekiel 40:46 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ate ekigango ekitunudde emambuka kya bakabona abalabirira omwaliiro, be bo bazzukulu ba Zadoki, bazzukulu ba Leevi bokka abasobola okusemberera Omukama okumuweereza.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’ekisenge ekyolekera Obukiikakkono kya bakabona abavunaanyizibwa ekyoto. Abo be batabani ba Zadooki, era be Baleevi bokka abasobola okusemberera Mukama okumuweereza.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'enju etunuulira obukiikakkono ya bakabona abakuumi b'ekyoto kye balagirwa: abo be batabani ba Zadoki, be b'oku batabani ba Leevi abasemberera Mukama okumuweereza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'ennyumba etunuulidde obukiikakkono, ya bakabona abakola emirimu ku alutaari. Abo be basibuka mu Zaddooki, bokka ku b'omu Kika kya Leevi abakkirizibwa okusemberera Mukama okumuweereza.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'enju etunuulira obukiika obwa kkono ya bakabona abakuumi b'ekyoto kye balagirwa: abo be batabani ba Zadoki, be b'oku batabani ba Leevi abasemberera Mukama okumuweereza.