Ezekiel 40:47 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'apima oluggya, lwali lwa njuyi ezenkanankana, obuwanvu emikono kikumi n'obugazi emikono kikumi; omwaliiro gwo gwabeeranga mu maaso ga Kiggwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’apima oluggya, nga luli mita amakumi ataano obuwanvu, n’obugazi mita amakumi ataano, nga kya nsonda nnya ezenkanankana, n’ekyoto kyali mu maaso ga yeekaalu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'agera oluggya, obuwanvu bwalwo emikono kikumi (100), n'obugazi bwalwo emikono kikumi (100), okwenkanankana; n'ekyoto kyali mu maaso g'ennyumba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo omusajja n'apima oluggya olwomunda ne luba nga lwenkana obuwanvu n'obugazi, mita amakumi ataano. Alutaari yali mu maaso g'Essinzizo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'agera oluggya, obuwanvu bwalwo emikono kikumi n'obugazi bwalwo emikono kikumi okwenkanankana; n'ekyoto kyali mu maaso g'ennyumba.