Ezekiel 40:48 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yandeeta ku Kisasi ky'Ekiggwa n'apima emyango gy'Ekisasi; gyali gya mikono etaano obugazi ku buli luuyi; ate obugazi bw'omulyango bwali emikono kkumi n'ena, ate ebisenge ebiyitamu nga bya mikono esatu obugazi erudda n'erudda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’antwala ku kisasi kya yeekaalu n’apima empagi ez’ekisasi ezaali eruuyi n’eruuyi olw’ekisasi. Ne ndaba nga ku mukono ogwa ddyo empagi emu epima mita bbiri n’ekitundu ku luuyi olw’ebweru ate ng’empagi eyookubiri ku mukono ogwa kkono erina ebipimo ebyenkanankana na luli. Oluuyi olw’omunda olw’empagi emu lwapima mita emu n’ekitundu, n’oluuyi olw’omunda olw’empagi eyookubiri nga nalwo lupima mita emu n’ekitundu. Okuva ku mpagi we zitandikira okutuuka ku mulyango gwa yeekaalu waali mita musanvu, ekitegeeza nti ekisasi kyali mita musanvu obuwanvu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo n'antwala ku kisasi eky'ennyumba, n'agera buli mufuubeeto ogw'ekisasi emikono etaano eruuyi n'emikono etaano eruuyi, n'obugazi obw'omulyango bwali emikono esatu eruuyi n'emikono esatu eruuyi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo n'antwala mu kasenge k'ovaamu okuyingira mu Ssinzizo. N'apima omwango gw'omulyango gw'akasenge ako, ne guba mita bbiri n'ekitundu obuwanvu oludda olumu, ne mita bbiri n'ekitundu oludda olulala, n'obugazi mita emu n'ekitundu oludda olumu ne mita emu n'ekitundu oludda olulala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo n'antwala ku kisasi eky'ennyumba, n'agera buli mufuubeeto ogw'ekisasi emikono etaano eruuyi n'emikono etaano eruuyi: n'obugazi obw'omulyango bwali emikono esatu eruuyi n'emikono esatu eruuyi.