Ezekiel 40:49 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekisasi kyali kya mikono amakumi abiri obuwanvu, ate obugazi emikono kkumi n'ebiri; amadaala kkumi nga ge gambukayo; ku buli ludda lw'omwango nga waliyo empagi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Obugazi bw’omulyango ng’otaddeko n’empagi ez’enjuuyi zombi bwali mita kkumi. Okuva ku mpagi okutuuka ku mulyango gwa yeekaalu waali mita ttaano n’ekitundu. Amadaala kkumi ge gaalinnyibwanga okutuuka ku kisasi. Waaliwo n’empagi endala bbiri eruuyi n’eruuyi ezaaliraana empagi eziwanirira ekisasi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Obuwanvu bw'ekisasi bwali emikono abiri (20) n'obugazi emikono kkumi na gumu (11), ng'ogera awali amadaala ge baalinnyirangako omwo, era waaliwo empagi eziriraanye emifuubeeto, emu eruuyi n'emu eruuyi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Obuwanvu bw'akasenge ako k'ovaamu okuyingira mu Ssinzizo, bwali mita kkumi, n'obugazi bwako, mita ttaano n'ekitundu. Waaliwo amadaala agalinnyibwako okutuuka ku mulyango ogwo, n'empagi bbiri okuliraana emyango, empagi emu ku buli ludda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Obuwanvu bw'ekisasi bwali emikono amakumi abiri n'obugazi emikono kkumi na gumu: ng'ogera awali amadaala ge baalinnyirangako omwo: era waaliwo empagi eziriraanye emifubeeto, emu eruuyi n'emu eruuyi.