Ezekiel 40:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'agenda ku mulyango ogutunudde ebuvanjuba, n'ayambuka ku madaala gaagwo, n'apima omwango gwagwo; gwali gwa lumuli lumu obugazi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oluvannyuma n’alaga ku mulyango ogutunuulira Ebuvanjuba, n’alinnya amadaala n’apima omuziziko ogusooka ogw’omu mulyango, nga guli oluti lumu, ze mita ssatu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo n'ajja eri omulyango ogutunuulira ebuvanjuba, n'alinnya ku madaala gaagwo; n'agera awayingirirwa ow'omulyango, obugazi bwawo olumuli lumu: n'awayingirirwa awalala, obugazi bwawo olumuli lumu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo n'ajja ku mulyango ogutunuulira ebuvanjuba, n'alinnya amadaala gaagwo, n'apima omulyango ogwo we guyingirirwa. Obugazi bwawo bwali mita ssatu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo n'ajja eri omulyango ogutunuulira ebuvanjuba, n'alinnya ku madaala gaagwo; n'agera awayingirirwa ow'omulyango, obugazi bwawo olumuli lumu: n'awayingirirwa awalala, obugazi bwawo olumuli lumu.