Ezekiel 40:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obuzigo bw'abakuumi bwali bwa lumuli lumu obuwanvu, n'olumuli lumu obugazi; ekisenge ekiyitamu wakati w'obuzigo bw'abakuumi kyali kya mikono etaano obunene, ate omwango gw'omulyango gw'ekisasi ekitunudde mu Kiggwa nga gwa lumuli lumu obunene.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’obusenge obw’abakuumi bwali mita ssatu obuwanvu, n’obugazi mita ssatu, ng’ebbanga eryawula obusenge obwo liri mita bbiri n’ekitundu. Waaliwo n’omuziziko ogwokubiri. N’omuziziko ogwo gwali mita ssatu mu bugulumivu. Mu maaso g’omuziziko ogwo waaliwo ekisasi okutunuulira yeekaalu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Na buli nju obuwanvu bwayo olumuli lumu n'obugazi bwayo olumuli lumu; ne wakati w'amayu emikono etaano; n'awayingirirwa ow'omulyango awali ekisasi eky'oku mulyango okwolekera ennyumba, waaliwo olumuli lumu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Okweyongerayo, waaliwo olukuubo oluwanvu olwaliko obusenge ebbali n'ebbali obubeeramu abakuumi, obusenge busatu ku buli ludda, nga buli kamu ka mita ssatu obuwanvu, ne mita ssatu obugazi. Ekisenge ekyawula obusenge obwo, kyali kya mubiri gwa mita bbiri n'ekitundu. Okuyisa obusenge obwo, waaliwo olukuubo lwa mita ssatu obuwanvu, olugenda ku kasenge k'ovaamu okuyingira mu luggya olwomunda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Na buli nju obuwanvu bwayo olumuli lumu n'obugazi bwayo olumuli lumu; ne wakati w'amayu emikono etaano; n'awayingirirwa ow'omulyango awali ekisasi eky'oku mulyango okwolekera ennyumba, waaliwo olumuli lumu.