Ezekiel 40:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Emyango gyakyo nga gya mikono ebiri obunene. Ekisasi ky'omulyango nga kitunudde mu Kiggwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
nga kiri mita nnya obugulumivu. Waaliwo empagi bbiri ku nsonda y’ekisasi, n’omubiri ogw’empagi ezo gwali mita emu. Ekisasi eky’oku mulyango kyayolekera yeekaalu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo n'agera ekisasi eky'oku mulyango, emikono munaana; n'emifuubeeto gyamu, emikono ebiri; n'ekisasi eky'oku mulyango kyayolekera ennyumba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'alyoka apima akasenge k'ovaamu okuyingira mu luggya olwomunda, akasembayo mu lukuubo olwo nga ke kaliraanye Essinzizo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo n'agera ekisasi eky'oku mulyango, emikono munaana; n'emifuubeeto gyamu, emikono ebiri; n'ekisasi eky'oku mulyango kyayolekera ennyumba.