Ezekiel 41:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo omusajja n'andeeta ku Ddiiro n'apima emyango; obugazi bw'emyango buli gumu ku njuyi zombi nga bwa mikono mukaaga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo omusajja n’antwala ebweru wa yeekaalu Awatukuvu n’apima empagi ez’awayingirirwa mu kifo ekitukuvu, obugazi mita ssatu buli luuyi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'antwala ku Yeekaalu n'agera emifuubeeto, obugazi bwagyo emikono mukaaga eruuyi n'emikono mukaaga eruuyi, bwe bwali obugazi bw'eweema.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo omusajja n'antwala mu Ssinzizo, n'apima emyango gy'omulyango, ne giba mita ssatu ku ludda olumu, ne mita ssatu ku ludda olulala. Obwo bwe bwali obugazi bw'emyango.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'antwala ku yeekaalu n'agera emifuubeeto, obugazi bwagyo emikono mukaaga eruuyi n'emikono mukaaga eruuyi, bwe bwali obugazi bw'eweema.