Ezekiel 41:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekizimbe ekyali kitunudde mu luggya ku luuyi olw'ebugwanjuba kyali kya mikono nsanvu obugazi; ekisenge ky'ekizimbe ng'obugazi kya mikono etaano okwetooloola wonna, obuwanvu bwakyo, emikono kyenda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekizimbe ekyali mu luggya emanju wa yeekaalu, lwe luuyi olw’ebugwanjuba kyali obugazi mita amakumi asatu mu ttaano, n’omubiri gw’ekisenge eky’ekizimbe ekyo gwali mita bbiri n’ekitundu okwebungulula, n’obuwanvu bwakyo mita amakumi ana mu ttaano.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ennyumba eyali mu maaso g'ekifo ekyayawulibwa ku luuyi olw'ebugwanjuba obugazi bwayo bwali emikono nsanvu (70); n'ekisenge ky'ennyumba obugazi bwakyo bwali emikono etaano enjuyi zonna, n'obuwanvu bwakyo emikono kyenda (90).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekizimbe ekyali kitunudde mu lukuubo olwo ku ludda olw'ebugwanjuba, kyali kya mita amakumi ana mu ttaano obuwanvu, ne mita asatu mu ttaano obugazi, n'ebisenge byakyo nga birina omubiri gwa mita bbiri n'ekitundu obunene enjuyi zonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ennyumba eyali mu maaso g'ekifo ekyayawulibwa ku luuyi olw'ebugwanjuba obugazi bwayo bwali emikono nsanvu; n'ekisenge ky'ennyumba obugazi bwakyo bwali emikono etaano enjuyi zonna, n'obuwanvu bwakyo emikono kyenda.