Ezekiel 41:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ate n'apima Ekiggwa; kyali kya mikono kikumi obuwanvu. Oluggya n'ekizimbe n'ebisenge byakyo nga bya mikono kikumi obuwanvu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oluvannyuma omusajja n’apima yeekaalu, ng’obuwanvu eri mita amakumi ataano, n’oluggya lwa yeekaalu n’ekizimbe n’ebisenge byakwo byali obuwanvu mita amakumi ataano.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bw'atyo n'agera ennyumba, obuwanvu bwayo emikono kikumi (100); n'ekifo ekyayawulibwa n'ennyumba n'ebisenge byayo, obuwanvu bwakyo emikono kikumi (100).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo omusajja n'apima ekizimbe kyonna eky'Essinzizo. Kyali mita amakumi ataano obuwanvu. N'apima n'okuva emabega w'ekizimbe ky'Essinzizo, okutuukira ddala ekizimbe eky'omu bugwanjuba we kikoma. Obuwanvu bwawo nabwo bwali mita amakumi ataano.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo bw'atyo n'agera ennyumba, obuwanvu bwayo emikono kikumi; n'ekifo ekyayawulibwa n'ennyumba n'ebisenge byayo, obuwanvu bwakyo emikono kikumi.