Ezekiel 41:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obugazi mu maaso g'Ekiggwa n'oluggya lu ludda olw'ebuvanjuba bwali bwa mikono kikumi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Obugazi bw’oluggya lwa yeekaalu ku luuyi olw’ebuvanjuba ng’ogasseeko emiryango wa yeekaalu waali mita amakumi ataano.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era obwenyi bw'ennyumba obugazi bwabwo n'obw'ekifo ekyayawulibwa okwolekera obuvanjuba, emikono kikumi (100).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Obukiika obw'omu maaso g'Essinzizo ku ludda olw'ebuvanjuba, wamu n'enkuubo ku njuyi zombi, ez'Essinzizo, nabwo bwali mita amakumi ataano.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era obwenyi bw'ennyumba obugazi bwabwo n'obw'ekifo ekyayawulibwa okwolekera obuvanjuba, emikono kikumi.