Ezekiel 41:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
emiryango, amadirisa amafunda, ebbalaza zonsatule okwetooloola wonna, na buli kintu obusukka mulyango n'omulyango gwennyini nga bibembekeddwako embaawo okuva ku ttaka okutuuka ku madirisa, n'amadirisa gaali mabikke.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’awayingirirwa, n’amadirisa amafunda n’embalaza okugeetooloola gonsatule, okwolekera omulyango byonna byabikkibwako embaawo, ne wansi, n’ekisenge okutuuka ku madirisa, n’amadirisa byabikkibwako.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
emiryango n'amadirisa agaazibibwa n'embalaza enjuyi zonna, okwolekera omulyango, byonna byabikkibwako embaawo, enjuyi zonna n'okuva ku ttaka okutuuka ku madirisa; era n'amadirisa gaabikkibwako;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
byali bibikkiddwako embaawo ku bisenge, okuva wansi okutuuka ku madirisa. Amadirisa ago gaali gabikkiddwako.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
emiryango n'amadirisa agaazibibwa n'ebbalaza enjuyi zonna, bbalaza ssatu buli bbalaza ng'eri ku bbalaza ginnaayo, okwolekera omulyango, ezaabikkibwako emiti enjuyi zonna n'okuva ku ttaka okutuuka ku madirisa; era amadirisa gaabikkibwako;