Ezekiel 41:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
kwaliko ebifaananyi ebyole eby'abakerubi n'eby'enkindu, nga bitobekeddwa wano olukindu wali omukerubi. Buli mukerubi yalina ebyenyi bibiri:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
yakolebwa ne bakerubi n’enkindu, ng’olukindu luteekeddwa wakati wa bakerubi kinnababirye. Ne buli kerubi yalina ebyenyi bibiri
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era yakolebwa ne bakerubi n'enkindu; n'olukindu lwateekebwa wakati wa bakerubi kinnababirye, na buli kerubi yalina ebyenyi bibiri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
byali byoleddwako ebifaananyi by'enkindu n'eby'abakerubi, buli lukindu nga luli wakati w'omukerubi n'omukerubi, ate nga buli kerubi alina obwenyi bubiri:
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era yakolebwa ne bakerubi n'enkindu; n'olukindu lwateekebwa wakati wa bakerubi kinnababirye, na buli kerubi yalina obwenyi bubiri;