Ezekiel 41:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Emyango gy'enzigi z'Eddiiro gyali gya njuyi nnya ezenkanankana. Mu maaso g'Awatukuvu Ennyo nga waliwo ekifaanana
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omulyango ogw’Awatukuvu ebweru gwali gwa nsonda nnya era n’ogwo ogwali mu maaso g’Ekifo Ekitukuvu Ennyo gwali gugufaanana
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yeekaalu emifuubeeto gyayo gyaliko empe nnya; n'obwenyi bw'awatukuvu enfaanana yaabwo yali ng'enfaanana eya Yeekaalu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Emyango gy'emiryango gy'ekisenge ekinene kyennyini eky'Essinzizo, gyali gyenkanankana enjuyi zonna. Mu maaso g'ekisenge ekyo waaliwo ekintu ekifaanana nga
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yeekaalu emifuubeeto gyayo gyaliko empe nnya n'obwenyi bw'awatukuvu enfaanana yaabwo yali ng'enfaanana eya yeekaalu.