Ezekiel 41:24 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Buli luggi nga lwa nabansasaana, ebiwero bibiri ebiyungiddwa ne ppata ku buli luggi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Buli luggi lwalina empayi bbiri, buli mwango nga gulina enzigi bbiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'enzigi zaali za mbaawo bbiri, embaawo bbiri ezeefunya; embaawo bbiri za luggi lumu, n'embaawo bbiri za luggi olwokubiri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Enzigi ezo zaali za biwayi bibiri buli lumu, ebyewuubanga nga zeggula.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'enzigi zaali za mbaawo bbiri, embaawo bbiri ezeefunya embaawo bbiri za luggi lumu, n'embaawo bbiri za luggi olw'oku biri.