Ezekiel 41:26 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku mabbali ekisenge ky'Ekisasi kwaliko amadirisa amafunda nga kwoleddwako ebifaananyi by'enkindu ku buli luuyi. Obusenge obw'oku mabbali ku Kiggwa nabwo bwaliko obusasi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku bisenge eby’ebbali eby’ekisasi kwaliko amadirisa amawanvuyirivu nga mafunda agaali gooleddwako ebifaananyi eby’enkindu ku buli luuyi. N’ebisenge eby’ebbali ebya yeekaalu byalina obusasi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era waaliwo amadirisa agaazibibwa n'enkindu eruuyi n'eruuyi, ku njuyi z'ekisasi, ebisenge eby'ebbali eby'omu nnyumba byalina embaawo ez'omubiri omunene.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebisenge by'akasenge ako eby'erudda n'erudda, byalina amadirisa agataggulwa, agaliko ebifaananyi by'enkindu. Obusenge obwazimbibwa mu mbiriizi z'Essinzizo, bwe bwali bwe butyo n'embaawo ez'omubiri omunene.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era waaliwo amadirisa agaazibibwa n'enkindu eruuyi n'eruuyi ku njuyi z'ekisasi: amayu ag'omu mbiriizi ag'omu nnyumba bwe gaali bwe gatyo n'embaawo ez'o mubiri omunene.