Ezekiel 41:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'ayingira mu Kisenge eky'Omunda n'apima emyango gy'omulyango ku njuyi zombi, buli gumu gwali gwa mikono ebiri obugazi. Omulyango gwennyini gwali gwa mikono mukaaga obugazi, ate ekisenge ekiyitamu ku buli luuyi nga kya mikono musanvu obugazi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oluvannyuma n’ayingira munda wa yeekaalu Awatukuvu w’Awatukuvu, n’apima empagi eziri awayingirirwa, buli emu obugazi mita emu. Omulyango gwali mita ssatu obugazi, n’ebisenge ebyayitangamu eruuyi n’eruuyi ku mulyango oguyingirirwamu mu Watukuvu w’Awatukuvu byali mita ssatu n’ekitundu obugazi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo n'agenda munda n'agera buli mufuubeeto oguli awayingirirwa, emikono ebiri, n'awayingirirwa emikono mukaaga, n'awayingirirwa obugazi bwawo emikono musanvu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo n'ayingira mu kisenge ekyomunda ddala, n'apima emyango gy'omulyango, ne giba mita emu obugazi, n'obugazi bw'omulyango ne buba mita ssatu, n'ebisenge eby'ebbali n'ebbali mita ssatu n'ekitundu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo n'agenda munda n'agera buli mufuubeeto oguli awayingirirwa, emikono ebiri: n'awayingirirwa emikono mukaaga: n'awayingirirwa obugazi bwawo emikono musanvu.