Ezekiel 41:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'apima obuwanvu bwakyo, kyali kya mikono amakumi abiri obugazi n'emikono amakumi abiri eri gye kisembera ku Ddiiro. N'aŋŋamba nti: “Wano we Watukuvu Ennyo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’apima Awatukuvu w’Awatukuvu nga wali mita kkumi obuwanvu, n’obugazi mita kkumi. N’aŋŋamba nti, “Kino kye kifo ekiyitibwa Awatukuvu w’Awatukuvu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'agera obuwanvu bwawo emikono abiri (20), n'obugazi bwawo emikono abiri (20), mu maaso ga Yeekaalu, n'aŋŋamba nti, “Kino kye kifo ekitukuvu ennyo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'apima ekisenge ekyo kyennyini ekyomunda ddala. Kyali mita kkumi ku kkumi obuwanvu n'obugazi. Ekisenge kino kye kyali kisemberayo ddala munda mu Ssinzizo. Awo n'aŋŋamba nti: “Kino kye kifo ekitukuvu ennyo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'agera obuwanvu bwawo emikono amakumi abiri, n'obugazi bwawo emikono amakumi abiri, mu maaso ga yeekaalu: n'aŋŋamba nti Kino kye kifo ekitukuvu ennyo.