Ezekiel 41:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'apima ekisenge ky'Ekiggwa, kyali kya mikono mukaaga obunene, n'obusenge obw'oku mabbali okwetooloola wonna Ekiggwa bwali bwa mikono ena obugazi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’apima ekisenge ekya yeekaalu, ng’omubiri gwakyo guli mita ssatu, na buli kisenge eky’ebbali okwebungulula yeekaalu obugazi nga kiri mita bbiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo n'agera ekisenge eky'ennyumba emikono mukaaga; na buli nju ey'omu mbiriizi obugazi bwayo emikono ena, okwetooloola ennyumba enjuyi zonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo omusajja n'apima obunene bw'omubiri gw'ekisenge ky'ekizimbe ky'Essinzizo. Kyali kya mita ssatu. Ku mbiriizi z'ekisenge ekyo okwetooloola Essinzizo lyonna, baali bazimbiddeko obusenge, nga buli kamu ka mita bbiri obugazi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo n'agera ekisenge eky'ennyumba emikono mukaaga; na buli nju ey'omu mbiriizi obugazi bwayo emikono ena, okwetooloola ennyumba enjuyi zonna.