Ezekiel 41:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obusenge obw'oku mabbali bwali bwa myaliiro esatu, akamu waggulu wa kanne waako, nga buli mwaliiro gulinako obusenge amakumi asatu okwetooloola wonna. Ku kisenge ky'Ekiggwa okwetooloola kwaliko enzizi eziwaniridde obusenge obw'oku mabbali; naye ng'enzizi ezo tezisonsekeddwa munda mu kisenge kya Kiggwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebisenge eby’ebbali byali emyaliiro esatu, buli kimu nga kiri waggulu wa kinnaakyo, ku buli mwaliiro kwaliko ebisenge amakumi asatu. Waaliwo empagi ezawaniriranga ebisenge ebyo naye ng’empagi ezo teziyingira mu kisenge ekya yeekaalu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebisenge eby'ebbali byali emyaliiro esatu, buli kimu nga kiri waggulu ku kinnaakyo ku buli mwaliiro kwaliko ebisenge asatu (30), waliwo empagi ezawaniriranga ebisenge ebyo naye ng'empagi ezo teziyingira mu kisenge kya nnyumba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Obusenge obwo obw'oku mbiriizi z'Essinzizo, bwali bwa kalina ssatu, nga buli mwaliiro gwa kalina, guliko obusenge amakumi asatu. Bwayingira mu kisenge eky'ennyumba ey'obusenge obwo obw'omu mbiriizi enjuyi zonna, bukwate omwo, naye buleme kukwata mu kisenge eky'Essinzizo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'amayu ag'omu mbiriizi gaali asatu, enju ng'eri waggulu ku nju ginnaayo, era amakumi asatu nnyiriri nnyiriri; era gaayingira mu kisenge eky'ennyumba eyali ey'amayu ag'omu mbiriizi enjuyi zonna, gakwate omwo, so galeme okukwata mu bisenge eby'ennyumba.