Ezekiel 41:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obugazi bw'obusenge obw'oku mabbali bwagendanga bweyongera obugazi ku buli mwaliiro okusinziira ku nzizi nga bwezaagendanga zigaziwa ku buli mwaliiro okwetooloola wonna Ekiggwa. Amadaala gaayambukanga okuva ku mwaliiro ogwa wansi okutuuka ku mwaliiro ogwa waggulu nga gayitira mu mwaliiro ogwa wakati.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebisenge eby’ebbali okwebungulula yeekaalu byagendanga nga byeyongera okugaziwa buli mwaliiro ogweyongerangayo waggulu, era amadaala gaazo agalinnyirwako gaava wansi okutuuka ku mwaliiro ogusembayo nga guyita ku mwaliiro ogwa wakati.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebisenge eby'ebbali okwebungulula ennyumba byagendanga byeyongera okugaziwa buli mwaliiro ogweyongerangayo waggulu, era amadaala gaazo agalinnyirwako nga gaava wansi okutuuka ku mwaliiro ogusembayo nga gayita ku mwaliiro ogwa wakati.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Okwetooloola Essinzizo lyonna, akasenge k'omu mbiriizi zaalyo ak'omu kalina emu, kaabanga kagazi okusinga kannewaako ak'omu kalina eddirira wansi, kubanga okwetooloola Essinzizo, ekisenge kyalyo kyagendanga kifunda okudda waggulu. Obugazi bw'obusenge kyebwavanga bweyongera, ng'odda waggulu. Bwe batyo baalinnyanga okuva mu kalina eya wansi okutuuka mu ya waggulu, nga bayita mu kalina eya wakati.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'amayu ag'omu mbiriizi gaagenda nga geeyongera okugaziwa nga gagenda nga geeyongera waggulu okwetooloola ennyumba; kubanga okwetooloola ennyumba kwagenda nga kweyongera waggulu okwebungulula ennyumba: obugazi bw'ennyumba kyebwava bweyongera waggulu; bwe batyo baalinnyanga okuva mu nju eya wansi okutuuka mu nju eya waggulu nga bayita mu nju eya wakati.