Ezekiel 41:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne ndaba ng'Ekiggwa kyalina ebbalaza enzimbe okwetooloola wonna era ng'ekola ng'omusingi gw'obusenge. Yali ya lumuli lumu obugulumivu, gye mikono mukaaga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne ndaba nga yeekaalu eriko ekifo ekyagulumira okugyebungulula nga kye kikola omusingi ogw’ebisenge eby’ebbali. Obuwanvu kyali ng’obuwanvu obw’oluti, z’emita empanvu ssatu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ne ndaba ng'ennyumba yali ku kigulumu enjuyi zonna, emisingi gy'ebisenge eby'ebbali gyali olumuli olulamba olw'emikono emiwanvu mukaaga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era ne ndaba ng'Essinzizo lyali ku kigulumu enjuyi zonna. Emisingi gy'ennyumba eya kalina ey'omu mbiriizi, gyali olumuli lulamba olwa mita ssatu obuwanvu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ne ndaba ng'ennyumba yali ku kigulumu enjuyi zonna: emisingi egy'amayu ag'omu mbiriizi gyali olumuli olulamba olw'emikono emiwanvu mukaaga.