Ezekiel 41:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekisenge eky'ebweru eky'obusenge bw'oku mabbali kyali kya mikono etaano obunene. Waaliwo ekkuubo wakati w'obusenge obw'oku mabbali
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Waaliwo ekisenge ekyebunguludde ebisenge eby’ebbali. Omubiri gw’ekisenge ekyo gwali mita bbiri n’ekitundu. Waaliwo ekibangirizi wakati w’ebisenge eby’ebbali ebya yeekaalu n’ekisenge ekyebunguludde ebisenge eby’ebbali ebya yeekaalu. Waaliwo n’ekibangirizi wakati wa bbugwe n’ekisenge ekyebunguludde ebisenge eby’ebbali ebya yeekaalu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Obugazi bw'ekisenge ekyali kyebunguludde ebisenge eby'ebbali bwali emikono etaano. Waaliwo ekibangirizi wakati w'ebisenge eby'ebbali n'ekisenge ekyebunguludde ennyumba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Obugazi bw'ekisenge eky'ebweru w'ennyumba eya kalina ey'omu mbiriizi z'Essinzizo bwali mita bbiri n'ekitundu, era wakati w'ennyumba ey'obusenge obw'omu mbiriizi z'Essinzizo,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Obugazi bw'ekisenge ekyali eky'amayu ag'omu mbiriizi ebweru bwali emikono etaano: n'ebbanga eryafikkawo lyali kifo eky'amayu ag'omu mbiriizi ag'omu nnyumba.